1 Samuel 27:2-6

2 aAwo Dawudi n’abasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki ow’e Gaasi. 3 bDawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali. 4Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi n’alekeraawo okumunoonya.

5Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?”

6 cAwo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero.
Copyright information for LugEEEE